Ebyobulamu

Muyambe abali ku ndiri

Ali Mivule

January 28th, 2014

No comments

Palliative care

Gavumenti yakuvaayo n’enkola erambika obujjanjabi eri abantu abalina endwadde ezitawona.

Akulira ekibiina ekitumbula enkola eno, Rose Kiwanuka agamba nti abalwadde bangi abalina endwadde ezitawona abayinza okuyambibwa kyokka nga bafiira mu kwewunika kubanga tebalina buyambi bwonna

Kiwanuka agamba nti abalwadde bangi abalina kokoolo ne mukenenya beetaaga obujjanjabi buno

Akikkatiriza nti ssinga enkola eno ebaawo, olwo buli ddwaliro kiba kirikakatako okubeera n’obujjanjabi buno olwo abantu abalina endwadde zino nebayambibwaako.