Ebyobulamu

Kokoolo w’amabeere ekimusibyeewo butamanya

Ali Mivule

October 7th, 2014

No comments

Breast cancer new

Obutamanya busongeddwaako ng’ensibuko y’obulwadde bwa kokoolo w’amabeere obweyongera buli lunaku

Abali mu byobulamu bagamba nti abakyala bangi tebamanyi bikwata ku kokoolo wa mabeere ng’abasinga batuuka n’okugenda mu basawo b’ekinnansi mu kifo ky’okugenda mu malwaliro.

Akulira ekibiina ekiyamba abakyala abalina kokoolo, Rebecca Mayengo agamba nti abakyala abali wakati we 300 ne 400 beebafuna kokoolo buli mwaka ate ng’abasinga bamulaba kikereezi.

Mayengo agamba nti abakyala bangi era balowooza nti kokoolo tawona kyokka nga ssi bweguli ssinga omuntu aba ayanguye

Omu ku batuula ku kibiina kino, Gaturude Nakigudde agamba nti eno y’ensonga lwaki bakusigala nga basomesa abantu ku kirwadde kino kyoka nga nabo beefaako

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *