Ebyobulamu

Hepatitis B atabukidde abe Lango

Ali Mivule

October 7th, 2014

No comments

Hep

Minisitule y’ebyobulamu ekakasizza ng’obulwadde bwa Hepatitis B bwebuzzeemu ate okutawaanya abe Lango

Abayizi bana okuva ku ssomero lya Aduku Secondary School mu disitulikiti ye Apac beebamaze okukakasibwa okuba n’ekirwadde kino era nga bassiddwa mu nkambi yaabwe ku Aduku health center IV.

Ku ntandikwa y’omwaka guno abantu bana beebafa obulwadde buno obwabalukawo mu disitulikiti ye Lira

Abantu abalala abalina obulwadde buno basangibwa mu gombolola ye Alito mu disitulikiti ye Kole

SSentebe wa disitulikiti, Andrew Ogwang Oyang asabye gavumenti okutunuulira ennyo eky’okwewala obulwadde buno  mu kifo ky’okubujjanjaba

Obulwadde buno tebuwona era nga buva mu kwegatta n’omuntua bulina , okukozesa empiso ezimu, oba maama okubusiiga omwana

Obulwadde buno butandika namuntu kwengerera maaso, okukyaawa eby’okulya n’okunywa, omusulo omukwaafu  n’embiro

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *