Ebyobulamu
Etteeka ku siriimu teryetaagisa
Abali mu mulimu gw’okulwanyisa obulwadde bwa mukenenya basabye ababaka ba palamenti okwongera okwetegereza etteeka erikwata ku siriimu nga tebannalowooza kuliyisa.
Bano wansi w’ekibiina kya UGANET bagamba nti obuwayiiro obumu mu tteeka lino bugenda kuzza Uganda emabega ku bulwadde bw amukenenya
Bano amakanda bagasimbye ku kawaayiro akawa abasawo abbeetu okwogera abakeberebwa nekizuulibwa nti balwadde kajja kukugira bangi okwekebeza nga batya okubaatula
Akulira UGANET Dorah Musinguzi agamba nti okutwaliza awamu etteeka lino teryetaagisa kubanga siriimu tasobola kulwanyisibwa nga gavumenti ne bannakyeewa bayita mu mateeka.