Ebyobulamu

Etteeka ku sigala liyise mu Bungereza

Ali Mivule

January 27th, 2014

No comments

E-cigarettes

Mu ggwanga lya Bungereza etteeka erigaana abavubuka abali wansi w’emyaka 18 okufuuka sigala omulongoseemu liyise.

Sigala ono yefananyirizaako ddala sigala owa bulijjo kyokka ng’ono bamupikabupisi era ng’avaamu ekikka ekikkakkanya omuywi wa sigala

Sigala ono asinga kusangibwa mu mawanga ga Bulaaya nga yatondebwaawo okuyamba abantu okuva ku sigala mpola kubanga tabaamu taaba mungi.

Abantu abakunukkiriza mu kakadde akamu n’ekitundu beebakozesa sigala ono

Mu ngeri yeemu era gavumenti ya Bungereza eyagala kuwera eky’abaana abali wansi w’emyaka 18 okufuuwa sigala wa bulijjo.

Amawulire gano avudde ku mukutu gwa BBC

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *