Ebyobulamu

Empeke za siriimu ezikaaya zitulemesa- abalina siriimu

Ali Mivule

September 12th, 2014

No comments

Minisitule ekola ku byobulamu esuubizza okufuan eky’okuddamu eri empeke eziweweeza ku bulwadde bwa Mukenenya ezikaawa

sour ARVS

Abantu abakozesa eddagala lino bangi beemulugunya nti emu ku empeke zebamira zikaawa ekivaako bangi obutagimira

Kati Minisita w’ebyobulamu Dr Rukahana Rugunda agamba nti ensonga eno yabatuukako era tebatudde bayiiya eky’okukola

Empeke zoogerwaako kuliko tenofovir ne lamivudine  nga zino teziseerebwa kyokka nga zikaawa okukira omususa

Empeke zino zombi ezikozesebwa nnyo mu mawanga agakyaakula

Kati akulira ekibiina ekigatta abalina ekirwadde kya Mukenenya Margret Happy agamba nti ekibewunyisa kwekulaba nti abaleeta kuno eddagala lya mukenenya ssibeebatuusa empeke zino kale nga beewunya lwaki ate zibaweebwa

Margaret Happy agamba nti bamaze okwebuuza ku mmapuni ya Hetero Labs Limited etuusa eddagala mu Uganda ku mpeke zino kyokka nga nabo bazeeganye