Ebyobulamu

Ebbula ly’obupiira

Ali Mivule

November 8th, 2013

No comments

comdoms

Ebbula ly’obupiira bugalimpitawa lirumbye abe Kamuli.

Kino kikakasiddwa akulira enteekateeka y’okugabira abantu eddagala eriweweeza ku mukenenya e Kamuli George Kalembe.

Alaajanidde ekitongole kya National Medical Store okubaddukiria kubbula lyo’bupiira buno elimaze ebbanga lya myezi ebiri miramba.

Kalembe ategezezza Dembe FM nti kino kizingamizza omulimu ogw’okulwanyisa sirimu n’okujanjaba abalina akawuka ka Mukenenya.

Wabula yo ministry y’eby’obulamu egamba nti balina obupiira obumala yadde ng’obuzibu bubadde mu ku butambuza.

Omwogezi wa minisitule, Rukia Nakamatte agamba nti mu kadde kano balina obupiira obuweza obukadde 27 era nga basuubira obulala obukadde 50 omwezi ogujja.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *