Ebyobulamu

Abe Mulago bayitiddwa mu kkooti

Ali Mivule

January 20th, 2014

No comments

mulago kids

Kooti enkulu e Mulago eragidde abaddukanya eddwaliro lye Mulago okwewozaako mu musnago ogwawaabwa abazadde ababbibwaako omwana.

Omwana ayogerwaako kigambibwa okuba nga yazaalibwa ne mulongo munne kyokka n’abula era abasawo e Mulago nebategeeza bakadde be nti yali afudde

Ekyewunyisa abazadde bano kwekulaba ng’ate ku kipande kyebafuna tekyeyoleka nti omwana yafa

Bazadde b’omwana ono okuli Michael Mubangizi ne Jennifer Musimenta  bayita mu kibiina kya center for Health, Human Rights and Development.

Bano yadde omwana waabwe babategeeza nga bweyali afudde tebabaweerawo mulambo okutuusa lwewayitawo ennaku ssatu  era okwekebeza ng’omwana ssi waabwe

Omulamuzi abazadde abawadde amagezi okuteesa n’abe mulago nti kyokka ssinga kigaana omusnago gwakutandika okuwulirwa nga 26 omwezi gw’okusatu

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *