Ebyobulamu

Abe Kabowa bali mu kutya olwa kaabuyonjo

Abe Kabowa bali mu kutya olwa kaabuyonjo

Ivan Ssenabulya

August 15th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Abatuuze b’e Kabowa bagamba nti batudde ku ccupa olw’embeera ya kaabuyonjo eyeeraliikiriza.

Bagamba nti kabuyonjo ntono atenga nezriwo ezimu zajjula dda, ng’enkuba bwetonnya zikulukuta.

Lawrence Mbabaali ow’ebyobulamu mu zooni ya Ssembule B ne Kironde agamba nti, embeera ya kaabuyonjo mu bitundu byabwe  mbi nnyo, nga betaaga okuyambibwa ngebirwadde byobuligo nga Kolera mnga tebinabaddamu.

Agambye nti mu Ssembule B, mulimu abantu abasukka mu 5,000 wabula abantu 30 kyenkana bakozesa kaabuyonjo emu.

Kati eno kaabuyonjo z’olukale zebaalina, zaamenyebwa nga basengula abantu ku luguudo lw’eggaali y’omukka.