Ebyobulamu

Abakyala tebafibwaako

Ali Mivule

March 6th, 2014

No comments

HIV victims

Abakyala abalina obulwadde bwa Mukenenya mu Africa tebafuna buyambi bwebetaaga

Ab’omukago gwa palamenti ya Africa balaze obwenyamivu  nti abakyala bakyaboolebwa olw’okubeera n’akawuka ka mukenenya.

Ababaka abakyala mu palamenti eno boogeddeko eri bannamawulire nebategeeza ng’abakyala bwebalekeddwa amabega mu nsonga eziwera ebikwata ku byobulamu ate nga beebamu ku babonaboona ennyo.

Bano bagamba nti abakyala bangi tebafuna bujjanjabi bwebetaaga  naddala abo ababeera mu byaalo

Ababaka okubadde Elsie Ayeh ne Dr Margret Mungherera kati bagaala gavumenti etuukirize emirimu gyaabwe okulaba nti abakyala bafibwaako.