Ebyobulamu

Abakyala e Bukomansimbi bazaliira ku ttaka

Abakyala e Bukomansimbi bazaliira ku ttaka

Ivan Ssenabulya

August 20th, 2019

No comments

Bya Geretrude Mutyaba

Akulira eddwaliro lya Kitanda Health Centre 111 Dr Timothy Wasswa awanjagidde gavumenti n’abakulembeze mu district ye Bukomansimbi okubayamba ku mbeera ye ddwaliro lino.

Agambye nti bw’otuuka ku ddwaliro lino toyagala kukyama olw’embeera y’ebizimbe ekanga, nga balina ekitanda kimu abakyala kwebazaalira.

Kino agamba nti kivaako abakyala abembuto abasigadde okuzaliira ku ttaka.

Nakabutuzi omusasi waffe gwasanze ku ddwlairo lino, agambye nti olumu batya n’okugenda ku ddwaliro lino olw’embeera gyeririmu.

Kati omu ku basawo abazaalisa asabye gavumenti ebayambe, kubanga waada yaba maama abazaala yesinga okusanga obuzibu.