Ebyobulamu

Abagabi b’obuymabi besambye Uganda

Abagabi b’obuymabi besambye Uganda

Ivan Ssenabulya

August 14th, 2019

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Bannakyewa abatakabanira okulwanyisa ekirwadde kya mukenenya mu gwanga mu mukago gwa One Dollar Initiative, beeralikirivu olw’obuyambi i okuva mu mawanga ga Bulaaya obweyongera okusalika.

Bino webijidde nga Uganda esigazza abavujjirizi 5 bokka, abateeka ssente mu kulwanyisa ssiriimu.

Bannakyewa bano bagamba nti kekaseera Uganda ezikuke, obulwadde bwandiddamu okutirimbula abantu.

Ebibalo biraga nti Uganda erimu abantu akakadde 1 nemitwalo 30, abawangaala ne mukenenya nga ku bano emitwalo 10 tebali ku ddagala.

Kati Prof Venard Nantulya eyaliko ssenkulu wa Uganda Aids Commission ne Global Fund mu Uganda, akulia One Dollar Initiative, agambye nti gavumenti erina okuvaayo nensawo ey’enjawulo okutambuza enekolera ku balwadde baayo.