Ebyobulamu

Abaana bakulongoosebwa

Ali Mivule

April 24th, 2014

No comments

children

Abaana abasoba mu 150 abalina obulwadde bw’omutima beebagenda okufuna obujjanjabi.

Aba’eddwaliro ly’omutima e Mulago beebakwataganye ne banna Rotary okuyamba abaana bano ng’ebimu ku bikujjuko by’okukuza emyaka etaano bukyanga ddwaliro lino litandika.

Amyuka akulira eddwaliro lye mitima Dr Peter Lwabi agamba nti abaana bano bakulongosebwa abasawo bannayuganda abaatendekebwa abasawo abazungu mu nkambi eyasooka

Ono wabula agamba nti nga bakuza emyaka etaano bingi ebikyabulawo okuli n’ensimbi ezissibwa mu ddwaliro lino.

Dr. Lwabi agamba nti abaana lukumi beebazaalibwa n’ebizibu ku mitima gyaabwe buli mwaka era nga baba beetaga okulongoseebwa