Ebyemizannyo

Uganda cranes yetegese- Serunkuuma mulwadde

Ali Mivule

October 15th, 2014

No comments

Uganda cranes in Togo

Team yegwanga eri munsiike leero negwanga lya Togo mukibuga Lome akawungeezi ka leero mu mpaka ez’okusunsulamu abaneetaba mu kikopo kya Africa muggwanga lya Morocco omwaka ogujja.

Agava mu nkambi ya Uganda Cranes e Togo galaga nti omuzanyi Yunus Sentamu tagenda kusamba olw’omusujja ogwamuyiikidde

Okusinziira ku munamawulire wa team eno Fred Katende,ategezezza nga Sentamu Bweyaweredwa obujanjabi wabula nga tagenda kuwona mubudde okusobola okusamba omupiira gwa leero.

 

Abalala abalina obuvune kuliko goalkeeper Dennis Onyango nomuzibizi Savio Kabugo wabula omutendesi Micho ategezezza nga bwalina abazanyi abalala absobola okuzibikira ebituli bino.

 

Omupiira guno gwa ssaawa kuminabiri(6pm) eyakawungeezi ate Ghana ne Guinea basambe kussaawa emu eyakawungeezi.