Ebyemizannyo

She-cranes afunye obuwagizi

Ali Mivule

March 11th, 2014

No comments

Netball

KKampun ya National Insurance coporation olunaku lwa leero ewadde Fufa ensimbi eziwerera ddala obukadde shs 660m nga zino zigenda eri abasambi ba team yegwanga eya Cranes wamu nabakungu baayo.

Ssente zino zakuyambako omuzanyi oba omukungu wa Cranes singa afuna obuvune obutamusobozesa kuddamu kusamba mupiira obulamu bwe bwonna ,nga ono ajja kufuna obukadde shs20m,ate omuzanyi okufiira kukisaawe naye wakufuna ensimbi zezimu songa ate anafuna obuvune obutono tono ngasambira team eno agenda kuweebwa obukadde shs3m ezebujanjabi.
Bino byona byasanguzidwa akulira company ya NIC omwami Bayo Folayan wamu nomukulembeze wa Fufa,Engineer Moses Magogo.
Essente zino zamwaka guno wabula MwamiAbayo ategezezza nga enkolagana eno bwegenda okubeerawo ebbanga lyonna nga bali ne Cranes.