Ebyemizannyo

Omuserikale awangudde omusipi mumpaka z’ebikonde.

Ivan Ssenabulya

July 7th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba.

Waliwo omuserikale wa polisi ali kudaala elya Special Police Constable Ronald Odoch awangudde omusipi ogwa World Heavy Kick Boxing Championship  mumpaka eza World Kickboxing Federation International Champion Title  ezibadde mu gwanga lya Hungary.

Odoch  awuttudde  munansi wa Romania  Radu Mihai Gabriel , nga ono amukubidde mu luzanya lwakuna , era nga okumumegga amukubye ekkonde tonziriranga.

Ono abade azanyira mubuzito bwa Kilo 69.5, nga  muno abademu n’abalala okuva mu Austria, Bosnia, Romania, Lithuania ne  England.

Bwabadde amwanjula eri banamawulire, akulira eby’emizanyo mu polisi ye gwanga AIGP Andrew Sorowen asiimye Odoch  olw’okuweesa uganda ekitiibwa

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *