Ebyemizannyo

Olunaku lwa baddusi lwa nkya

Ali Mivule

May 8th, 2015

No comments

Athletese arrive

Uganda yakwegatta ku nsi endala 117 okukuza olunaku lw’emisinde munsi yonna.

Olunaku luno lwakukwatibwa olunaku lw’enkya nga mu Uganda wategekeddwaawo emisinde e Namboole okugezesa abaddusi ba Uganda.

Omwogezi w’ekibiina ekikulembera omuzannyo guno mu ggwanga Namayo Mawerere ategezezza nti emisinde gyenkya,mwebagenda okulondera team y’eggwanga enakiika mu mpaka ez’enjawulo okuli n’eza babinyweera mu ggwanga lya China

Namayo ategeezezza nti yo Uganda etegese omukolo omulala omutongole nga 16th e Bombo omwezi guno.