Ebyemizannyo

Okubaka kw’ababaka

Ali Mivule

November 22nd, 2013

No comments

Netball

Omukubiriza w’olukiiko lw’egwanga Rebecca Kadaga asuubizza nga gavumenti bw’ekola kyonna ekisoboka okufunira tiimu y’eggwanga ey’okubaka ensimbi ezigenda okubatwala e Singapore.

Bano balina okwetaba mu mpaka z’amawanga omukaaga omwezi gujja.

Spiika  bino abyogeredde Namboole oluvanyuma lw’okuzanya omupiira ogw’omukwano ne tiimu eno.

Tiimu y’eggwanga ewutudde eya babaka abakyala bakiise 71- nga bbo balina 16.

Abamu ku babaka abazanye kuliko, Winnie Kiiza,Brenda Nabukenya,Kabakumba Matsiko,Kalungi Elizabeth wamu nabalala.

Mu kiseera kyekimu tiimu y’abakiise ebadde nayo yegezaamu nga yetegekera empaka za bababaka mu palamenti mu mawanga ga  East Africa ezitandika nga 8th omwezi ogujja wano mu Kampala.