Ebyemizannyo

Micho ayogedde awaava obuzibu

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

cranes players

Omutendesi wa tiimu y’eggwanga eya Cranes Micho,kyaddaaki avuddemu omwaasi ku kya Uganda okuwandulwa mu mpaka za CHAN.

Micho ategezezza nti Uganda okuva mu mpaka zino kyava ku butali bumanyirivu obumala,sso nga n’okujjamu Hassan Wasswa kyakosa tiimu

Uganda yakubwa Morocco goal 3-1.

Bino byonna bibaddewo ku kyemisana ekitegekeddwa Fufa eri abazanyi wamu ne bannamawulire ku Ivy’s Hotel olwaleero.

Ye omukulembeze w’omupiira mu ggwanga Moses Magogo,ategezezza ng’essira Fufa bw’egenda okuliteeka mu kuzimba omupiira okuviira ddala wansi,okutendeka abatendesi wamu n’okufuna ebikozesebwa n’ebisaawe nga kino kyokka kyekigenda okuyamba omupiira gwa Uganda ebiseera eby’omu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *