Ebyemizannyo

Gavumenti y’esse omupiira

Ali Mivule

January 21st, 2014

No comments

Jessica Alupo

Omupiira mu Uganda gwakusigala mu buzibu okutuusa ng’enkayaana mu FUFA ziweddewo

Ssentebe wa superleague, Kavuma Kabenge bino y’abyogedde bw’abadde alabiseeko mu kakiiko ka palamenti akakola ku byemizannyo nebyenjigiriza

Ono agamby eni obuzibu bwa Uganda buviira ddala ku baddukanya omupiira nga bebeetaga okutereeza

Kyokka yye omusango agusalidde gavumenti gy’agamba nti eremereddwa okusalawo ku nsonga zino

AKinoganyizza nti FUFA zombie zirina olukusa okukola emirimu era ng’azikkiriza ye gavumenti ekikyaamu

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *