Ebyemizannyo

FUFA USL bategeraganye

Ali Mivule

March 8th, 2014

No comments

Bakkabulindi

Ekibiina ekikulembera omupiira mugwanga ekya Fufa wamu ne Uganda Super league kyaddaaki bamaze nebakiriziganya ekyokubeera ne league emu mu ggwanga.

Kino bakikoze mu office ya minister Charles Bakabulindi akawungeezi ka leero okumalawo endoolito mu mupiira ezimaze omwaka gumu nekitundu nga Uganda erina leagues bbiri.
Fufa ekikiridwa omukulembeze waayo Moses Magogo ate ku ludda lwa USL,Kavuma Kabenge yabaddewo okussa emikono kundagaano eno eya muzanganda.
Minister Bakabulindi ategezezza nga bwali omusanyufu kino okubaawo kubanga
kigenderedwamu kutereeza mupiira gwa Uganda wamu nokutereza embeera yabasambi gyebalimu.