Ebyemizannyo

Ferdinand ne Hodgson balondeddwa

Ali Mivule

October 21st, 2013

No comments

Ferdinand

Eyali akulira tiimu ya Bungereza Rio Ferdinand n’omutendesi wa tiimu eno Roy Hodgson balondeddwa ku kakiiko akagenda okuzza tiimu y’eggwanga engulu.

Okulondebwa kwaabwe kuddiridde okwemulugunya ku kakiiko kano okuba nti kajjuddeko beeru na basajja

Ferdinand nga muzibizi mu tiimu ya Man United  yakoma okuzannya ogw’ensimbi mu mwezi ogw’okutaano.

Ono ye muntu atali mweru kutuuka ku lukiiko luno oluliko abantu 10.