Ebyemizannyo

Equatorial Guinea y’enategeka AFCON

Ali Mivule

November 14th, 2014

No comments

Cranes in tutorial

Ekibiina ekiddukanya omupiira ku lukalu lwa Africa kironze eggwanga lya Equatorial Guinea okukyaza empaka za Africa Cup of Nations.

Empaka zino zaali zirina okutegekebwa eggwanga lya morocco, wabula olw’okutya ekirwadde kya Ebola Morocco yagaana okutegeka empaka zino.

Wano mu Uganda, tiimu y’eggwanga ekyagenda mu maaso n’okwetegekera omupiira n’eggwanga lya Ghana olunaku lw’enkya.

Yo tiimu ya Ghana yatuuse dda mu ggwanga era ngensubirwa okutendekebwa akawungeezi kalero e Namboole.