Ebyemizannyo

Equatorial Guinea yakuliwa

Ali Mivule

February 6th, 2015

No comments

Equatorial Guinea

Eggwanga lya Equatorial Guinea likubiddwa kayini ya mitwalo 10 egya doola olw’okulemererwa okufuga abantu baalyo mu mupiira gweryazannye ne Ghana olunaku lwajjo

Ab’ekibiina kya CAF bagamba nti omupiira guno nebweguba gwakuddibwaamu, abawagizi tebajja kukkirizibwa kubaawo.

Equatorial Guinea era eragiddwa okusasula obujjanjabi bw’abawagizi 36 abalumiziddwa mu kavuyo.

Bbo abalumiziddwa abalala 14 bali mu malwaliro ng’okunonyereza ku nsonga eno kukyagenda mu maaso

Omupiira guno ogwabadde mu kisaawe kye Malabo m u ddakiika ye 82 oluvanyuma lw’abawagizi ba Ghana okuddukira okumpi ne goolo yaabwe nga badduka abawagizi ba Eqautorial Guinea ababadde babalumbye

Poliisi yagezezzaako okukkanya abantu ng’ekozesa ttiagaasi ne batuuni n’okutuuka okuleeta enyonyi ezayise waggulu kyokka nga teri kikyuukamu.