Ebyemizannyo

Ekikopo Kya Eid

Ali Mivule

October 14th, 2013

No comments

Eid cup

Nga abayisiramu bakuza Eid olunaku lw’enkya,wategekeddwaawo ekikopo kya Eid Aduha wakati wa team ya Express ne KCCA FC mu kisaawe e  Nakivubo.

Nga omupiira ogw’ekikopo tegunazanyibwa, wagenda kusookawo omupiira ga bama Sheik ne ba Haji ku ssaawa munaana.

Omugenyi omukulu ye Deputy Mufti, Sheik Mukulu wakika era abanawangula bakukwasibwa ekikopo ne Ente.

URA FC beebasembayo okuwangula ekikopo kino mu 2011.

Abaana abato abanajjira mu byambalo bye ddiini bakuyingirira bwerere.