Ebyemizannyo

Cranes yesozze enkambi

Ali Mivule

November 5th, 2014

No comments

Cranes

Omutendesi wa team yegwanga eya Cranes Micho ayise abazanyi 26 mu kutendekebwa okutunda akawungeezi ka leero e Namboole nga Uganda yetegekera omupiira ogwomukwano ne Ethiopia ku Sunday eno nga 9th .

Abapya kubayitidwa kuliko Jamal Salim nga ono mukwaasi wa goal okuva mu team ya El Merrikh mu Sudan ne Keziron Kizito okuva mu team ya Vipers.

Kubano abazanyi 26 abayitidwa,akakiiko kyebyekikugu wamu nomutendesi kwebagenda okulonda team enasamba Ghana nga 15th omwezi guno mumpaka ezokunsulamu abanetaba mukikopo kya Africa omwaka ogujja.