Ebyemizannyo

Airtel essizzaamu ensimbi

Ali Mivule

April 24th, 2014

No comments

children playing
KKampuni ya Airtel etongozezza empaka zabamusaayi muto eza Airtel Rising stars olunaku lwa leero wano mu kampala.
Empaka zino zigenderedwamu kutumbula bitone byabamusaayi muto okuva ku myaka 12 okutuuka ku 18 mubalenzi nabawala mubitundu byegwanga ebyenjawulo.
Empaka zino zitandika nga 9th omwezi ogujja okutuuka nga 25th June era teams biri eyabalenzi nabawala zakulwondebwako okukikirira Uganda muzakamalirizo ezigenda okubeera e Gabon mumwezi gwomunaana.