Ebyemizannyo

Abawanguzi mu by’emizannyo

Ali Mivule

January 6th, 2014

No comments

 

Kiprotic winaBanamawulire abasaka ag’emizanyo olunaku lwa leero balonze banabyamizanyo abasinga okukola obulungi omwaka oguwedde.

Mu muzanyo gw’omupiira,Dan Serunkuuma yalondedwa, mu kubaka Peace Proscovia Nasinga,mu bikonde Joseph Lubega yasinze, mu misinde Steven Kiprotich y’anywedde mu banne akendo ate nga Jas Mangat y’aleebezza abe motoka

Moses Golola naye ayasinze mu muzanyo gw’ensamba ggere .

Abazanyi basatu balondedwa okuvugunya ku ky’omuzanyi w’omwaka nga kuno kuliko Steven Kiprotich,Peace Proscovia wamu ne Jas Mangat.

Omukolo ogw’okukwasa abawanguzi ebirabo gwakubeerawo mu mwezi gwa April omwaka guno.