Abasibe mu kkomera lye Masaka olwaleero bavudde mu mbeera nebeekalakaasa olw'embeera mwebabaeera embi.
Bano era beemulugunya ne ku bbaga eddene lyebamaze ku alimanda.
Aduumira poliisi ye Masaka, Eddie Ssserunjogi agamba nti basazeewo okwongera ebyokwerinda ku kkomera okulaba nti abasibe bano tebatoloka.
Omwogezi w'amakomera Frank Baine agamba nti abasibe bano bandiba nga beekwasa nga bagaala kutoloka.
Mzee Amos Kaguta aziikibwa lunaku lwa nkya.
Kaguta ng'ono ye taata wa president museveni yafudde olunaku lwajjo ku ddwaliro lya International hospital mu kampala.
Omulambo gw'omugenzi guli Rwakitura olunaku lwaleero gyegusiibye ng'abantu bagulabako.
Okusabira omwoyo gw'omugenzi kwakutandika ku saawa 11 ez'okumakya kyokka ng'okuziika kwa ssaawa kkumi ez'owleggulo.
Wano ku Dembe FM tugamba nti Kitalo nnyo.
Poliisi erwanaganye nabatuuze be Kyakatebe ku luguudo lwe Mubende, abakedde okubba omwenge okuva ku ki loole ekyagudde mu kifo kino enkya ya leero.
Loole eno ebadde eva Mityana ku depot ya bbiya wa Nile, nga etwala kuleeti za bbiya ezisuka mu 2000 e Mubende ne mu byalo ebye njawulo.
Wabula e Kyakatebe ze mayiro nga abiri okutuuka…
Bawanyondo ba kooti nga bakuumibwa police enkya ya leero batandise okumenya amayumba ga batuuze e Mbuya ku ttaka erikyaaliko enkaayana eriri ku luguudo lwa ismail e Mbuya .
Obusolya obusinga bulitale nga babanyini mayumba gano bali mumaziga.
Kino kiwalirizza abamaka agawereredala 7 okwaaamuka ekifo kino wabula nga beebuza wa gyebagenda okudda.
Omu kubatuuze abakoseddwa Vincent Senfuka agamba nti…
Abayizi 18 abakwatibwa nga beekalakaasa basindikiddwa e Luzira
Omulamuzi wa kooti ya LDC, Esther Nansambu banoabasindie e oLuzira okutuusa ku lunaku lwa bbalaza
Wabula yye councilor, Bernard Luyiga bwebaali bakwtaiddwa yeeyimiriddwa ku mitwaalo kkumi
Bano baggiuddwakao misnago gya kwetaba mu kwekalakasa okumenya mateeka n’okwonoona ebintu by’abantu
Poliisi eyodde abantu 40 abagambibwa okuba abazigu
Bano bagyiddwa ku nguudo z’omu kibuga kampala okuli Nkuruma Road, Market Street, ne Nasser Road.
Aduumira poliisi ya CPS, James Ruhweza agamba ntio abakwatiddwa beebanyakula ensawo z’abakyala,n’okukozesa obutayimbwa okulumba ababa ku gaabwe
Ruhweza agamba nti ekikwekweto kyakugenda mu maaso.
N’abalala abali mu 30 bakwatiddwa mu biwkekweto ebikoleddwa mu Katwe
Abantu basatu bajiiridde mu ffumbiro mu bitundu bye kayunga
Kuno kuliko maama n’abaana babiri
Omukulu ategerekese nga Jalia Namata ne beb ow’emyezi owmendan’omwana omulala ow’emyezi owmena
Jalia agamba nti abaana okujjiira mu ffumbiro yabadde abalese waka ng’akkiridde mugga era nga yagenze okudda ng’omuliro gwatabuse dda
Ono mukugezaako okubataasa naye yayidde ebitundu bye ebyomubiri ebisinga
Abasatu bonna bakyali mu ddwaliro bapooca…
Omukyala abadde adduka enkuba omuti gumukubye
Joyce Kobusingye wetwogerere nga taanyi bili ku nsi okuva lweyazirise olunaku lwajjo.
Ono abeera e Mityana omuti gwasiguse negumugwiira era ng’omutwe gwegwasinze okukosebwa
Muliranwa we amulabirira, Godfrey Mukisa agamba nti omukyala ono mufumbo ng’alina abaana mwenda kyokka nga bba yagenda kukyaala kati wiiki nga tanadda ate nga talina ssimu
Omukuumi asangiddwa ng’afiiridde ku mulyango gw aloogi
Omugenzi ategerekeseeko lya Bwambale ng’ono yava bundibuggyo.
Bwabale abadde akuuma ku Rock Gadens lodge esangidwa e Kasese mu kibuga
Mukwaho gwomugenzi, Moses Baluku agamba nti omugenzi abadde aludde ngakaaba omutwe wabula nga ukama we yamugaana okudda ewaka.
Ono wafiride wasangidwawo ecupa ya soda n’amandaazi era nga byonna bitwalidwa police okwongera okubyekebejja
Namukadde akunukkiriza mu myaka 67 alumbiddwa abantu abatannategerekeka ne bamusala obufififi.
Javanese Runonzya abadde abeera ku kyaaalo Kyeibuza Nyakashashara.
Ono abamulumbye bakubye ekituli mu diiro lye nabamusanga nga afuluuta nebamusala obufififi.
Batabani b'omugenzi Allan Ahimbisibwe, Mark Runonzya and Tom Agaba bakwaatiddwa nga bateeberezebwa okuba nomukon mukino oluvanyuma lwokumala ebanga nga bagugulana nomugenzi lwa taka.
Nakunda and Turamye JohnBosco bakwaatiddwa…