Terukyaali lugambo nti kampuni ya airtel eguze ginaawo wyamasimu eya warid telekom.
Bharti Airtel kati yaakugatta ku bakistooma baaayo obukadde 4.6 , obulala 2.8 obwa warid okuweza obukadde 7.4 .
Akulira ebyemirimu mu Airtel mu Uganda , Manoj Kohli, agamba kino kyebatuuseko kyaamanyi dala era nasuuubiza empeereza enungi eri bakasitoma.
Kkooti y'amaggye etudde ku gombolola e Bombo egobye okusaba kw'okweyimirirwa okukoledddwa munaggye Private Patrick Okot.
Bannamateeka be nga bakulembeddwaamu Capt Nasser Dravo enkya ya leero bakedde kusaba mu bigambo nti omuvunaanibwa ayimbulwe kubanga ddembe lye.
Wabula ba memba ba kooti y'amaggye nga bakulembeddwaamu Brig Fred Tolit bagobye okusaba kuno nga bagamba nti omusango ogumuvunaanibwa gwannaggomola.
Tolit era asabye…
Omusango oguvunaanibwa omujaasi eyatta abantu 10 e Bombo gwongezeddwaayo okutuuka olunaku lw'enkya
Abajulizi bana beebareese obujuli okuli Ejan Poni, Lukia atima, Norah Alanya ne Sgt Godfrey Nyimarima.
Nyimarina agamba nti nga March 8 , 2013 , bwe yali e Bombo, yawulira amasasi agavuga n'adduka gye gaali gavugira n'asanga abantu nga bagudde wansi ku ttaka.
Munnamateeka w'oludda oluwaabi Fredrick Kagwamu…
Enteekateeka z’okujjuza ekyabaddemu minister akola ku bigwabitalaze Stepen Malinga zitandise
Akakiiko akalondesa kataddewo olunaku lwa nga 5 omwezi gw’okutaano okulonderako anamuddira mu bigere
Okuwandiisa abagenda owkesimbawo kwakubaaow nga 13 ne 14 era nga buli kimu kyakumalawo obukadde 469
Akulira akakiiko akalondesa, Eng Badru Kiggundu agamba nti kampeyini zakumala ennaku 20
Omusajja asanze mukyala we ku ssimu ng’awaya n’omusajja omulala amufumise kiso
Benah Nanduga musomesa yabadde ku ssimu ng’ayogera ne bba gw’ateberezza okubeera muganzi we
Mwanyina, Richard Katamba agamba nti omusajja ono nno ssigwegusoose okulumba mukyala we
Amasajja 2 ababadde babba amafuta ga generator ku omulongooti gwa Warid bakubiddwa amasasi.
Reagan Mulwana ne munne ategerekeseeko erya Mutyaba babadde bamaze okubba amafuta gano nga bagasse ku tippa
DPC woluguudo lwe Kira Alex Endunyu agamba nti balai bategeezebwaako ku bbbabba amafuta nabo kwekuswaama
Abalala 2 ababadde ku munyago guno basobodde owkemulula ne badduka.
Obutakkaanya wakati w'oludda olwebyekikugu nabakulembeze abalonde mu KCCA kirabika byakugweranga mu kooti.
Kuluno amyuuka lord mayor wekibuga kampala Suleiman kidandala awazewaaze akulira ekibuga mukyaala Jeniffer Musisi okutuuka mu mbuga zamateeka lwakulemererwa kuwa office ye nsimbi ziddukanya mirimu n'obutamusasula musaala gwekifo kyalimu.
Kidandala agamba okulondebwa kwe kwakakasibwa olukiiko lwaba kansala omwaaka oguwedde, wabula mukyala musisi tamukakasa era nga tamukombyanga ku…
Aduumira police mu kampala ne miriraano Andrew felix kawesi alagide bunambiro etendekero lye kyambogo okusazamu olukalala lwa abayizi 300 ababade balambikiddwa nga abataawa bisale
Nga ayogerako mu lukungaana olubadde wakati wabayizi kko nabatwala etendekero lino , Kaweesi agambye nti etendekero lirina okwekebejja amanya gano nga bava mwana ku mwana sso ssi kubatwalira awamu mu kirindi.
Kino kiddiridde…
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu bayizi be kyambogo ababadde beekalakaasa
Bano nno babadde balumbye akola ng’amyuka akulira ettendkero era ng’emmtoka ye batandise okugiwandagazaako amayinja
Obuizibu bwonna buvudde ku ttendekero kufulumya lukalala okuli amannya g’abayizi abagambibwa okuba nga tebannaamalayo bisale.
Kuno kubaddeko n’abamalayo edda kko n’abasasulirwa gavumenti abasitukiddemu okwerwanako
Enteekateeka namutaayika enayamba abantu okwejja mu bwavu etongozeddwa
Enteekateeka eno etuumiddwa vision 2040 ekirambika nga bannayuganda bwebajja okuba nga bamaze okwejja mu bwaavu omwaka guno wegunatuukira
Gavumenti essira egenda kulissa mu kulima, okwongera ku masanyalaze n’okutumbula bannamakolero.
President museveni y’atongoezza enkola enteekateeka eno