Amawulire

Awagenda okusimba emmotoka wawedde

Ali Mivule

October 30th, 2013

No comments

Enteekateeka z’okuwaayo ekibangirizi awanasimba emmotoka z’ababaka ba palamenti ziwedde Omulimu guno gubadde gugenda mu maaso okumala emyaka 2 n’ekitundu era nga guwemmense obuwumbi 36 Omwogezi wa palamenti, Hellen Kaweesa agamba nti ekibangirizi kino kigenda kusimbamu emmotoka ezisoba mu 500.

Poliisi yakusomesa abakuumi

Ali Mivule

October 30th, 2013

No comments

Poliisi yakusomesa abakuumi bonna ku ngeri y’okukozesaamu obuuma obukebera abantu. Kiddiridde amateeka amapya agafulumiziddwa nga buli kifo ekikungaanya abantu kirina okubaako omukuumi n’obuuma obukebera Akulira poliisi y’omu bitundu bya  kampala mukadde, Moses Gobolo agamba nti bannanyini bifo bino bangi bajjumbidde naye ng’abakuumi benyini tebamanyi kyakukola

Irene Namubiru bamubanja

Ali Mivule

October 30th, 2013

No comments

Eby’omuyimbi Irene Namubiru ssi birungi n’akatono. Ab’ekitongole ekiwooza ekya Uganda Revenue authority emmotoka ye kika kya Toyota Landcruiser bagiwambye ng’akadde konna bagitunda lwa butawa misolo. Abawooza bano bagamba nti Namubiru yakola ekivvulu ng’atongoza oluyimba mu mwaka gwa 2011 kyokka n’atasasula okutuusa kati Akulira abakola ku […]

Omusuubuzi David Katumwa akwatiddwa lwakulinnya mu muddo

Ali Mivule

October 30th, 2013

No comments

Munnabyabusuubuzi omugundiivu, David Katumwa akwatiddwa ng’atambulira mu muddo gwa KCCA. Ono alabiseeko mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya cityhall, Sarah Langa era teyegaanye misango gino. Omulamuzi amusalidde ekibonerezo kyakusasula emitwalo 2 egyabuliwo oba okusibwa sabbiiti 2 yadde nga ab’oludda oluwaabi basabye nti aweebwa ekibonerezo ekikakali […]

Babiri battiddwa

Ali Mivule

October 30th, 2013

No comments

Poliisi mu district ye Nakasongola etandise okunoonya abatuuze abakakanye ku bantu 2 mu gombolola ye wabaale nebabakuba emigo egyabagye mu budde. Bano babadde babalanga kubba nkoko. Omwogezi w’ekitundu kya Ssezibwa Lameck Kigozi agamba nti omu ku bavubuka abakubiddwa yafiirddewo ate omulala afudde lwaleero Kigozi avumiridde […]

Omusawo we Mukono yeeyimiriddwa

Ali Mivule

October 30th, 2013

No comments

Omusawo agambibwa okulagajjalira omukyala w’olubuto ekyamuviirako okufa Dr Christopher Bingi alabiseeko mu maaso g’omulamuzi Joy Bakunguza amweyimiridde ku mitwalo 75 Abamweyimiridde Kubaddeko Julius Mukwano, , Denis Mugisha,musawo munne ku ddwaliro lya health Center 4 ne Davd Sserunjogi Omulamuzi agambye nti Dr Bingi alina eddembe okweyimirirwa […]

Okusonda ssente za masiro, katikkiro atalaaze ebitundu

Ali Mivule

October 29th, 2013

No comments

Abaganda okuva mu bitundu bya Kampala ebitali bimu omuli ab’essaza lye Kyaddondo ne Busiro basonze obukadde 13, nga basinziira mu lusiisira katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga lw’akubye mu Masiro ge Kasubi. Olusisiira luno lwakugenda mu maaso okutuusa ku lunaku lw’okutaano olwa ssabiiti eno. Bw’abadde […]

Emirimu gisanyaladde e Kyambogo

Ali Mivule

October 29th, 2013

No comments

Emirimu gikyasanyaladde ku ttendekero lye Kyambogo abasomesa gyebali mu kwekalakaasa. Poliisi ekyagumbye ku ofiisi z’ettendekero ezitali zimu era nga teri kigenda mu maaso Abasomesa bano bonna basazeewo kimu nga nkuyege obutaddamu kusomesa oluvanyuma lw’akulira ettendekero lino, kakensa Omolo Ndiege okudda ku ntendekero ekintu kyebawakanya Yadde […]

Eby’okwerinda ku masinzizo

Ali Mivule

October 29th, 2013

No comments

Poliisi esabye abakulembeze ba kkanisa okukaliga eby’okwerinda ku miryango gyaabwe okutangira abatujju abayinza okwefuula abasabi Kino kivudde eri ssenkaggale wa poliisi  gen Kale Kaihura amaze okulagira nti ebifo byonna eby’olukale omuli ne kkanisa zissibweemu eby’okwerinda ebikakali. Kino abakulira poliisi ezitali zimu baatandise dda okukissa mu […]

Enkuba e Sironko, enguudo ziguddemu

Ali Mivule

October 29th, 2013

No comments

District ye Sironko esalise ku ndala ezigiriraanye olw’amataba agatasalako Entindo ssatu ezidda e Mbale tezikyasobola kukozesebwa motoka nga kati kwetoloola ate ng’amakubo mabi mazibu. Olumu ku ntindo ezaaguddemu lwazimbibwa omwezi gumu emabega nga luno lubadde lusinga kuyamba basuubuzi abatambuza ebya maguzi byaabwe okubituusa mu kibuga […]