Abantu bana beebafiiridde mu kabenje akagudde e Kakira ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga.
Akabenje kano kabaddewo enkya ya leero nga kavudde taxi no. UAT 875K etomeraganye ne ki Fuso ekibadde kitisse seminti
Aduumira poliisi ekola ku ntambula y’ebidduka, Edison Turamyomwe akabenje akatadde ku ndiima
Ki loole kino kyalemereddwa okusiba nekigwa mu kikko olwo nekikoona taxi.
Abagenze…
Enkayaana eziri mu kibuga tezijja kuggwaawo okutuusa ng’etteeka likyuuseemu
Omubaka akiikirira abantu be Makindye mu buvanjuba, John ssimbwa agamba nti gavumenti nebw’enaleeta loodi meeya , ajja kukubagana ne Executive director kubanga etteeka likyaamu
Ono bino abyogedde oluvanyuma lwa loodimeeya okutegeeza nga bweyagudde mu lukw eng’agenda kujjibw amu ofiis ng’omwezi guno tegunaba kuggwaako
Omubaka Ssimbwa kyokka yye agamba nti…
Abawala abasangiddwa nga beerenze ku makubo bamalidde mu kkomera.
Prossy Sentongo ne Edith Nanteza bavunaaniddwa mu maaso g’omulamuzi Sarah Langa
Ba maama bano ababiri tebegaanye gwakulenga kaboozi
Basaliddwa ekibonerezo kya wiiki 2 nga bali mu kkomera
Bano nno kigambibwa nti nga 6th omwezi guno basangibwa nga beerenze kyokka ate nebatakoma awo nebatandika okukuba poliisi amayinja
Mu ngeri yeemu
Abatembeeyi abasoba nmu…
Aba Kampala capital city authority bagenda kuddamu okumenya ebizimbe ebitatuukagana na mutindo
Muno mwemuli ebizimbibwa nga tekuli makubo ga baziinya mooto ssinga omuliro gukwata, ebifo awasimba emmotoka nga n’ebirala eby’okuusa okuva ku pulaani eziba ziyisiddwa
Omwogezi wa KCCA, Peter Kawuju agamba nti ebizimbe nga bino bissa obulamu bw’abantu mu matigga
Ono agamba nti ba landiloodi abalina ebizimbe bino…
Ettaka lye Kasokoso lya gavumenti
Minista akola ku by’ettaka Daudi Migereko agamba nti ettaka lino erisangibwa ng’okyamidde e Kireka ku luguudo lwe kinnawattaka lya kkampuni ya National Housing Corporation.
Ettaka lino n’abatuuze abasoba mu lukumi abaliriko bagamba nti lyaabwe era baweze dda okufafagana n’omuntu anetantala okulisemberera
Minister akola ku nsonga z’ettaka Daudi Migereko agamba nti balina enteekateeka okuzimba…
Pulezidenti Museveni akubirizza bannayuganda okwekebeza okumanya webayimiridde mu nsonga za mukenenya
Kino pulezidenti agamba nti kyakuyamba okutegeera abalwadde era batandisibwe ku ddagala nga bukyaali.
Ono agamba nti endwadde ya mukenenya ekyaalian akakwate ku ku nneyisa y’omuntu ng’engeri endala omuyita obulwadde buno ng’empiso, omusaayi kko n’obuva ku ba maama nga budda ku baana zzo bazinogedde eddagala
Olwaleero pulezidenti Museveni…
Omuliro gukutte ekizimbe kya Cham Towers ku luguudo lwa Kampala.
Omuliro guno gutandikidde ku mwlairo gw’omwenda okuli amaduuka agatunda emmere ne banka
Akulira abaziinya mooto, Joseph Mugisa agamba nti tebannategeera kivuddeko muliro kyokka nga gwamaanyi.
Ono agamba nti tebannamanya bungi bw abingi biyidde naye nga bakukola alipoota
Guno mulundi gwa kubiri ng'ekizimbe kino kikwata omuliro
Olwaleero omu ku baduumizi b'abayeekera ba M23 Sultan Makenge yeewaddeyo eri eggye l'yeggwanga erya UPDF, nga azze nebanne baabadde aduumira .
Ofwono Opondo nga ono y'ayogerera gavumenti ya Uganda , atugambye nti Makenge ayitidde mu kuumiro ly'ebisolo erya Mgahinga National Park, era n'ayanirizibwa amaggye ga Uganda .
Bino webigyidde ga mu sabbiiti eno yenyini ,bano kyebajje bakiteeke…
Loodi meeya Erias Lukwago agamba nti wakusigala ng’alwanira entebe y’obwa loodimeeya gy’agamba nti olukwe olugitwaala lwawedde
Lukwago agamba nti akitegeddeko nti oluvanyuma lw’okugaana okwetondera pulezident museveni , agenda kujjibwa mu ofiisi omwezi guno nga gavumenti ekozesa akakiiko akassibwaawo okunonyereza ku nneyisa ye.
Ono wabula agamba nti kino bagenda kukikola nga bayita mu kakiiko akamunonyerezaako.
Wabula aweze nti tajja…
Embeera ezze mu nteeko mu ttendekero lye Kyambogo poliisi gyeyakedde okwezooba n’abayizi.
Abayizi bano beekalakaasizza nga bagala kuddamu okusoma oba ssi kkyo ettendekero liggalweeewo
Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala okubagugumbulula kyokka nga bawera nti tebannaluba, bagaala kusoma
Lwo olukiiko olutudde wakati w'abasomesa n'abakulira ettendekro lyaabuse tewali kituukiddwaako