Amawulire

aba somali mu nkambi

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

Eggwanga lya Kenya lyongedde okutabukira abatujju Abasomaali bonna abali mu bibuga balagiddwa okugenda mu nkambi ezissiddwaawo mu kawefube w’okwewala ennumba z’ekika kyonna Minista wa Kenya akola ku nsonga z’omunda mu gwanga Ole Lenku agambye nti obulumbaganyi ku Kenya bususse ate ng’ababukola bava Somalia Bbo abamu […]

Ekizimbe kimugwiridde

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

Ekizimbe  ekibadde kimenyebwa e Nakasero okumpi n’omuzikiti kigwiiridde omusajja n’amenyeka mu kifuba Abu Lubega y’addusiddwa mu dwaliro ekkulu e mulago nga afa obulumi. Agamba nti abadde ne banne nga bamenya kwekulaba nga amabulooka gayiika era mu kugezaako okwetegula , amataffaali negamukuba mu kifuba

Eyakikoze omwana wa munne akwatiddwa

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

Poliisi ekutte omukyala asosonsese omwana wa muggya we omukono mu bukyala ng’amutebereza okwagala abasajja Rose Dembe akwatiddwa lweggulo lwaleero bw’abadde agezaako okudduka okuva mu maka ge e Kyamwokya Akulira poliisi ekola ku nsonga z’abaana John Mugerwa agambye nti omukyala ono bamuggalidde era nga n’oluvanyuma wakukola […]

Gavumenti etubidden’emirambo

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

Gavumenti ekyatubidde n’emirambo gy’aba Congo ababbidde bwebabadde badda ewaabwe Minisita akola ku bigwabitalaze, Eng Hillary Onek y’ategeezezza bino bw’abadde asoma ekiwandiiko kya gavumenti mu palamenti. Minisita agambye nti yadde basobodde okunyulula emirambo gya bantu 107, emirambo egimu gikyalemedde ku nsalo ya Uganda ne Congo nga […]

Abagambibwa okulya abantu bakwatiddwa

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

E Rakai abantu 4 abagambibwa okuba abali b’abantu abalamu abakakanye ku mukazi n’omwana we nebabalya bonna bakwatiddwa. Bano bazindukiriza Gabriel Bandigi , mukyala we o’wolubuto ,n’omwana waabwe omuto kyokka nga yye omusajja basobodde okudduka n’ebisago by’ejjambiya Adumira poliisi ye Rakai Nelson Sooma agamba poliisi ekyanonyereza […]

Omukyala akikoze omwana wa Muggya we

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

  Poliisi y’oku luguudo lwa  Kiira eri ku muyiggo gw’omukazi eyakubye omwana wa mujja we omukono mu bitundu by’ekyama alabe oba abadde yeebaka n’abalenzi katono amusikeyo nabaana.. Omuyizi ono ow’ekibiina ky’omusanvu y’addusiddwa mu ddwaliro nga  ng’atonya musaayi. Okusinziira ku atwala poliisi ya Kiira Road John […]

Abeesenza mu ntobazi bagenda

Ali Mivule

March 26th, 2014

No comments

Ab’ekitongole kya Kampala capital city authority batabukidde bannaggaga abeyongera okwesenza ku ttaka ly’entobazi.  Bano baweze okusengula abo bonna abesenza mu ntobazi e Kinnawataka, Banda Kisaasi n’ebitundu ebiriraanyeewo . Omwogezi wa KCCA Peter Kawuju agamba nti bano era tebabasuubira kukakasa pulaani zaabwe kubanga ekiragiro kyayita dda […]

Ebya Lukwago bijulidde

Ali Mivule

March 25th, 2014

No comments

Kkooti etaddewo olunaku lwa bbalaza ssabiiti ejja okusalawo oba eyimiriza okuwulira omusango gwa loodimeeya Erias Lukwago mw’ayita okutaasa entebe ye Ssabawolereza wa gavumenti yaddukira mu kkooti ejulirwaamu ng’asaba kiragiro ekiyimiriza okuwulira emisango gya Lukwago okutuusa ng’okwemulugunya kwe kukoleddwaako Mu kwemulugunya kuno, Peter Nyombi nga ye […]

Mu America 14 babikiddwa ettaka

Ali Mivule

March 25th, 2014

No comments

Ab’obuyinza mu kibuga Washington ekya America bazudde emirambo emirala mukaasa egy’abantu abafudde ettaka bweryabumbulukuse mu nkuba eyamaanyi Kati abakafa bali 14 Abantu abali mu 176 bbo tebamanyiddwaako mayitire nga babikiddwa ekisenge ekiwanvu Baddukirize bakola misana na kiro nga bakozesa n’enyonyi okunoonya abamaye naye ng’essuubi ly’okufuna […]

NRM eremeddwa ez’obupangisa

Ali Mivule

March 25th, 2014

No comments

Ab’ekibiina kya NRM bakyalemereddwa okusasula ez’obupangisa Bano nanyini kizimbe okuli ofiisi zaabwe abakubye mu mbuga z’amateeka ng’abanja obukadde 360 Aba kkampuni ya Nile Travel agencies beebavunanyizibwa ku kizimbe kino nga bagamba nti NRM emaze emyezi 30 nga tesasula Ekizimbe kino bakisasulira doola enkumi nnya buli […]