Amawulire

Agudde mu kidiba- poliisi esse omubbi

Ali Mivule

August 9th, 2014

No comments

Poliisi etandise kawefube w’okuyigga omulambo gw’omusajja agudde mu kidiba ky’amazzi e Kalule Luweero Omusajja ono abadde anaaba n’asereera nagwa mu mazzi era bw’atyo n’abbira Aduumira poliisi y’omu bitundu bya Savannah Musa Nabende agamba nti bamaze okuyita abaziinya mooto okuyambako Amasasi ganyoose e Kasana Luweero nga […]

Temwerabira nnono- Katikkiro ajjukizza abaganda

Ali Mivule

August 9th, 2014

No comments

Katikkiro wa Buganda owek Charles peter Mayiga akunze abaganda bonna mu buvanjuba bw’eggwanga bulijjo okujjukira okuddako ewaka obuteerabira nnono zaabwe Bino katikkiro abyogedde alambula obuvanjuba bw’eggwanga ng’asonda ettoffaali ly’okukulakulanya obuganda Abajjukizza era okusigala nga bakolagana n’abantu abalala okukulakulanya ekitundu Olunaku lwajjo katikkiro yasiibye Tororo, Malaba, […]

Aba Taxi beekalakasizza

Ali Mivule

August 9th, 2014

No comments

Ba dereeva ba taxi e Nabweru bakedde kwekalakaasa nga bemulugunya ku mbeera embi mwebakolera. Ba dereeva bano basimbyeku paaka ye Nabweru . Bano bagamba nti abakulembeze baabwe babatulugunya lwabutasasula nsimbi za munno mu kabi ate nga zino pulezidenti Museveni yaziwera olw’obutabaako mbalirira Aba taxi bategeezezza […]

Okwewandiisa kuggwa mwaka gujja- obukadde 14 bawandisiddwa

Ali Mivule

August 9th, 2014

No comments

Abantu abasoba mu bukadde 14 beebakawandiisibwa okufuna endaga Muntu Minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima y’ategeezezza bino kyokka n’agattako nti okuwandiisa abantu kwakugenda mu maaso okutuuka omwaka ogujja naye nga kino kyakubaawo ku ma gombolola Ng’ayogerako eri bannamawulire, Gen Aronda agambye […]

Lwaki musengula abantu- SSabasumba alumbye KCCA

Ali Mivule

August 9th, 2014

No comments

Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Dr Cyprian Kizito Lwanga avumiridde ekikolwa kya KCCA okusengula abantu okuva mu mayumba gaabwe Olunwe alusonze ku mayumba agamenyebwa ku luguudo lw’eggaali y’omukka ng’agamba nti kino kyabadde tekyetaagisa Ssabasumba wandowooza nti abantu bano bandibadde baweebwa obudde obumala okusenguka mu kifo […]

Olukiiko mu ndeeba luzzeemu katemba

Ali Mivule

August 8th, 2014

No comments

Olukiiko oluyitiddwa omubaka akiikirira abantu be Lubaga mu bukiikakkono John Ken Lukyamuzi luzzeemu katemba, abantu bwebamwefulidde Abalonzi bano babuuzizza Lukyamuzi gyeyali nga babamenya kyokka ng’ate bano bakwataganye n’abawagizi ba Lukyamuzi olutalo lw’ebigambo nelutandika Lukyamuzi wabula agambye nti abategese abantu abakoze effujjo abamanyi nga beebo abagaala […]

Gavumenti egonze ku bakulembeze b’ennono

Ali Mivule

August 8th, 2014

No comments

Gavumenti kyaddaki egonze ku nsonga z’abakulembeze b’ennono. Esazizzaamu ebbaluwa gyeyawandiise ng’eragira nti abakulembeze b’ennono bonna bawandukululwe , era mw’ekyo bawandiisibwe buto Minisita akola ku kikula ly’abantu, Mary Karooro Okurut agambye nti tebabadde na kigendererwa kyonna kyakusangulawo bakulembeze bonna. Minisita okwekuba engalike abadde amaze okusisinkana ababaka […]

Ababaka abavuganya babaguze- Wafula

Ali Mivule

August 8th, 2014

No comments

Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Wafula Ogutu avumiridde ekya gavumenti okwongera okusaasanya omusimbi mu babaka ab’oludda oluvuganya gavumenti. Nga ayogerako ne bannamawulire olwaleero, Oguttu ategezezza nga bwewaliwo ababaka 18 ab’oludda oluvuganya abaafunye obukadde 110 okuva eri gavumenti okusasula amabanja agabali mu bulago. Agamba kino […]

Buganda ssi yakuzza byapa

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

Obwakabaka ba Buganda buzzeemu okinogaanya nti ssibwakuzza byapabyogerwaako gavumenti Ssabawolereza wa gavumenti yawandiikira Mengo ng’agisaba okuzza ebyapa 13 ku byapa 213 nga bino bya ttaka erisangibwa e Kooki, Buruuli ne Bugerere Ssentebe w’ekitongole ky’ettaka mu Buganda, Kyewalabye Male agamba nti ebyapa bino bikyaali mu ngalo […]

Amaggye gayingidde mu bya Ebola

Ali Mivule

August 7th, 2014

No comments

Amaggye mu ggwanga lya Liberia gataddewo emisanvu egikoma ku bantu okuva mu bifo ebikoseddwa obulwadde bwa Ebola okuyingira ekibuga ekikulu Monrovia Kiddiridde omukulembeze w’eggwanga lino Johnson Sirleaf okulangirira akaseera k’akatyabaga mu ggwanga lye Obulwadde bwa Ebola bwongedde okutabuka nga bwakatta abantu 930 mu mawanga g’obugwanjuba […]