Amawulire

Ebye Katosi Mukono bikyalanda

Ali Mivule

September 2nd, 2014

No comments

Eby’amancoolo mu kuzimba  oluguudo oluva e Mukono okudda e Katosi bikyalanda.   Akakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku by’okuzimba kaabuse mpaawo kituukiddwako oluvanyuma lwa minisita avunanyizibwa ku by’enguudo  Abraham Byandala obutaba nabiwandiiko biraga engeri obuwumbi 24 gyebwaweebwayo eri abafere abeefuula aba kampuini enkozi y’enguudo okuva mu […]

Akalulu k’ekikungo kakubwe ku bwa Loodimeeya

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

Omuloodi w’ekibuga Kampala ssalongo Erias Lukwago agambye nti kati ebizibu bya Kampala bisobola kumalibwaawo na kalulu ka kikungo. Lukwago okwogera bino kiddiridde ebiyitingana nti   minisita wa kampala Frank Tumwebaze ateekateeka kutwala kiteeso mu lukiiko lwa ba minista ekijjawo abakulembeze abalonde mu kampala. Lukwago agambye nti […]

Ab’ebidiini batabuse- ababala bakwongerwa mu bitundu

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

Ekitongole ekikola ku by’emiwendo era nga kyekikulembeddemu okubala abantu,kitegeezezza nga bwekigenda okwongera ku bungi bw’ababala abantu, nga kino kiddiridde emisanvu egyizze gyeyoleka  mukubala abantu okugenda mu maaso. Kinajjukirwa nti okubala abantu kwakumala ennaku 10 zokka, wabula nga abawakanya okwewandiisa kuno, kko n’enkyukyuka y’obudde bikoseza nyo […]

Abazigu babayodde

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

Poliisi e Kawempe ekutte abasajja basatu abagambibwa okubeera abazigu Abasajja bano basangiddwa n’emmundu era nga kiteberezebwa nti babadde bateekateeka kunyaga Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Patrick Onyango agamba nti abakwatiddwa kuliko Dickson Orwenyi D, Isaac Ariti, and Constance Ahimbisibwe. Kiteberezebwa nti bano beebamu batigomya […]

Eyazaalibwa n’amagulu ataano alongoseddwa

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

Omwana eyazaalibwa n’amagulu ataano kyaddaaki alongoseddwa mu ddwaliro e Mulago Omwana ono alongoseddwa abasawo abakugu abakulembeddwamu Dr. John Ssekabira agamba nti omwana ono ali mu mbeera nungi nga n’okuyonka ayonka bulungi Omwana ow’obulenzi ono yazaalibwa mu mwezi gw’okutaano omwaka guno n’amagulu ataano Bakadde b’omwana ono […]

Akubye bebi ekikonde ekimusse

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

Poliisi e  Bugiri ekutte omusajja ow’emyaka 32 akakkanye  ku mwanawe ow’emyezi 4 n’amukuba ebikonde n’amutta. Ono yavudde mu mbeera oluvanyuma lw’okulwanagana ne mukazi we. Omusajja ono akoze ekikolwa kino ategerekese nga Francis Awori owe Rugaye e Bugiri. Atwala okunonyereza ku misango gya poliisi, Francis Ambaire […]

amasanyalaze gasse babiri e Kitende

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

Poliisi etandise okunonyereza ku bantu 2 abaakubiddwa amasanyalaze mu kkanisa nebafiirawo. Ekikangabwa kino kigudde ku kkanisa y’abadiventi e Kitende Moses Sebandeke ne Ivan Byarugaba ow’emyaka 18 nga babadde batambuza weema n’ekoona ku waya y’amasanyalaze negabakuba Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Fred Enanga agamba balala babiri […]

Ettaka lyakuddamu okubumbulukuka

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

Oluvanyuma lw’enjatika okuddamu okweyolekera mu lusozi lwa Elgon, abakugu balabudde gavumenti okusitukiramu  nga ettaka terinaddamu kubumbulukuka. Omubaka wa Bungokho South Michael Werikhe y’arabudde nga gavumenti bw’esaana okusengula abantu abali mu bitundu bino okulaba nga ettaka lino teribabikka. Agamba abantu abasoba mu kakadde akalamba bebayinza okukoseba […]

Omuyizi we Kasasa omulala afudde

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

Omuwendo gw’abayizi abaakafa oluvanyuma lw’akabenje akaagudde wali e Lukaya gulinye okutuuka ku 2 oluvanyuma lw’omuyizi w’essomero lya St Charles Lwanga Secondary School Kasasa naye okufa Omugenzi ategerekese nga  Gabriel Tamale nga ono wa siniya 4. Ono waakubiri okufa oluvanyuma lwa baasi ya kampuni ya Safaris […]

Abe Kayunga bagaanye okubabala

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

Abantu okuva ku byaalo bisatu okuli ekye Kawoomya, Wakisi ne Nakirubi ebisangibwa mu gombolola ye Kangulumira mu disitulikiti ye Kabagaanye okubalibwa. Bano bagoberezi b’ekidiini ekya 666 nga bagamba nti abalibwa, tebajja kugenda mu ggulu bbo abakulira eby’okubala abantu mu disitulikiti ye Lyantonde basabye poliisi okutandika […]