Amawulire

Abalala bagaanye okubalibwa

Ali Mivule

September 3rd, 2014

No comments

Poliisi e Ssembabule eriko abantu abalala 3 bekutte nga bebamu ku kidiinidiini kya Injiri ekigaana okubala abantu. Abakwatiddwa kuliko  Winfred Tumushabe, Jonathan Tuberuka ne  Devine Katushabe . Bano baaganye okubalibwa nga beekwasa nga eddiini yaabwe bwetabakkiriza nga era okubalibwa kikolwa kya sitaani. Akulira eby’okubala  e […]

Obusimbi butono obusindikibwa mu bitundu

Ali Mivule

September 3rd, 2014

No comments

Abamu ku bavuganya gavumenti bategezezza nga obutaba nabakozi bamala ku zi disitulikiti bwekikosezza enyo entambula y’emirimu. Minister wa gavumenti ez’ebitundu mu gavumenti y’ekisiikirize , Roland Mugume ategezezza nga kimu kyakubiri ku zi disitulikiti eziri mu ggwanga bwezitalina bakozi balina buyigirize kuddukanya mirimu. Mugume kino akitadde […]

Emotoka eyabbibwa ku mukulembeze we Kenya esangiddwa Uganda

Ali Mivule

September 3rd, 2014

No comments

Emu ku mmotoka eziwerekera omukulembeze w’eggwanga lya Kenya  Uhuru Kenyata eyabibwa e Nairobi  ezuuliddwa wano mu Uganda. Emmotoka eno yakika kya  BMW nga era yabibwa wiiki ewedde. Akulira poliisi y’ensi yonna wano mu ggwanga Assan Kasingye agamba bagisanze esimbiddwa e Wandegeya nga era baliko abantu […]

Ebbago ku bisiyaga lyakukomezebwaayo

Ali Mivule

September 2nd, 2014

No comments

Kawefube w’okuzza etteeka eriwera ebisiyaga azzeemu buto Amyuka sipiika Jacob Olanya agamba nti afunye ekiwandiiko okuva eri omubaka David Bahati ng’ayagala kuzza bbago lino Etteeka eriwera ebisiyaga lyaali lyayisibwa kyokka kkooti n’erigoba ng’egamba nti ababaka abaliyisa baali tebawera Oulanya kati agamba nti bakutuula enkya ku […]

Enkuba etwaala abaana

Ali Mivule

September 2nd, 2014

No comments

Ng’enkuba ekyagenda mu maaso n’okutonnya, abazadde bajjukiziddwa ku kubeera ab’obuvunaanyizibwa okwewala abaana okubafaako mu nkuba Kiddiridde amataba okutwala abaana babiri mu bitundu bye Bwaise ne Kabalagala. Amyuka akulira abaziinya mooto, Hassan Kihanda agamba nti abazadde basaanye obutajja maaso ku baana baabwe nga bazannyira mu mazzi. […]

Bokoharam yeeyongedde amaanyi

Ali Mivule

September 2nd, 2014

No comments

Ab’akabinja ka Bokoharam bawambye ekibuga kye Bama oluvanyuma lw’okulwanagana okwa maanyi n’amaggye ga gavumenti Enkumi n’enkumi z’abantu ba bulijjo badduse dda ekibambulira nga bweguli ne ku bajaasi Amaggye mu butongole tegannabaako kyeganyega nga kino kyekiddirira ekya Borno obunene okuwambibwa aba Bokoharam

Abalwanirira eddmebe ly’abaana sibamativu

Ali Mivule

September 2nd, 2014

No comments

Abalwanirira eddembe ly’abaana mu ggwanga baagala ebibonerezo ebikakali bibinikibwe kwaabo abasingisibwa ogw’okukukusa abaana. Omulanga guno wegujidde nga abaana abakukusibwa okutwalibwa mu mawanga amalala beyongera buli lukya era gweralikiriza. Akulira ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abaana ekya  ANPPCAN Uganda chapter, Anslem Wandega, ategezezza nga omwaka oguwedde kitundu ku […]

Munonyereze ku byaapa

Ali Mivule

September 2nd, 2014

No comments

Ababaka abatuula ku kakiiko k’ebyenjigiriza baagala okunonyereza kutandike ku byaapa by’ettaka ly’amasomero wano mu Kampala. Ababaka bano bali mu kuteesa ku nsonga ezikosa ebyenjigiriza wano mu Kampala nga era bagamba kisaanidde kubanga kikosa n’abayizi buterevu. Ensonga eno ereeteddwa omubaka wa  Kalungu y’obugwanjuba bwa Joseph Sewungu […]

Mutunde emigabo gyemwagula mu UMEME- abakozi batabuse

Ali Mivule

September 2nd, 2014

No comments

Ekibiina ekitaba abakozi ekya central organization of free trade unions  kikaladde nga kakano kyagala ekitavvu ky’abakozi NSSF  kitunde emigabo gyona gyekyagula mu kkitongole kya UMEME awataali lukussa Akuklira ekkibiina kino Peninah Tikamwesiga agambye nti amakubo agaayitwamu okuggula emigabo gino nga tebeebuzizza kubakozi makyamu, kale nga […]

Abakinjaaji e Lyantonde beediimye

Ali Mivule

September 2nd, 2014

No comments

Abakinjaagi ba lufula enkulu e  Lyantonde bavudde mu mbeera nebeekalakaasa lw’abatwala ekibuga kino okwongeza ensimbi ezibajibwako buli nsolo esalibwa. Bano bagaanye okusala ekisolo kyonna nga era abaguzi b’enyama bakonkomaliridde ku zi Bucha. Bano bemulugunya nti tebeebuuzibwako nga aba Tawuni kanso bongeza ssente zino nga kati […]