Amawulire

Ziggy wine yafudde kabenje- poliisi

Ziggy wine yafudde kabenje- poliisi

Ivan Ssenabulya

August 6th, 2019

No comments

Bya Rita Kemigisha ne Prossy Kisakye, Poliisi evudeyo netegezeza ng’omuyimbi munnakisinde kya people power kati omugenzi Micheal Alinda amanyidwa nga Ziggy Wine yafudde bisango byeyafuna mu kabenje ka bodaboda.

Okufa kwa Ziggy Wine kw’aleseewo okubagana empawo okuva mu bantu nga abamu bagamba byandiba eby’obufuuzi.

Mu kwogerako eri bannamawulire ku poliisi ya CPS mu kampala ssekamwa wa police Fred Enanga ategezeza ng’ono bweyafuna akabenje nga 21st July 2019 mu bitundu bye Kyebando.

Enanga ategezeza nga bwe balina obujulizi bwa pikipiki ekika kya Honda nga namba puleti zizulidwa.

Ono ayongedeko nga pikipiki eno bw’esangidwa nga yanyigibwa ku mukono gwakono ekyongera okworeka ebisago bye yasangidwa nabyo ku mubiri ku bitundu byakono nga n’eriiso mw’olitwalidde.

Agamba ebisango eby’omuliro ebyabadde ku mubiri byandibanga byava ku mudumu gwa exhaust.

Enanga wano ayongedde okukassa eggwanga nga okufa kwa Ziggy’ bwekwava ku kabenje soosi byabufuzi.

Mungeri yemu na b’ekibiina kye byobufuzi ekya Democratic Party bavumiridde enfa etategerekeka omugenzi gye yafudemu.

Bwabadde ayogerako eri bannamawuliire ku kitebe ky’ekibiina mu kampala omubaka wa Bukomansimbi mu Parliament Deo Kiyingi agamba okuttibwa kwa Alinda kwabaddemu eby’obufuuzi .

Wano wasabidde ekitongole kya police okukola okunonyerezza ku butemu buno mu bwangu.