Amawulire

Zamba aleese polojekiti y’empya ‘Rainfall’

Zamba aleese polojekiti y’empya ‘Rainfall’

Ivan Ssenabulya

February 28th, 2022

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omuyimbi owerinya omutontomi, munnaYuganda, era munnansi wa America era omuzannyi wa filimu Ernest Nsimbi aka GNL Zamba afulumizza polojkiti ye empya gyeyatuumye ‘Rainfall’ mwalagira obukulu bwamazzi n’enkuba, nga kitundu ku polojekiti ennene eya EP Infinity.

Muno era alaga obukulu bwobutonde bwensi, ngenrei amazzi bwegatambula ate negadda ngenkuba mu mwetoloolo.

“Rainfall” era kitundu ku filimu yaabwe eya Infinity, okuva mu Nsimbi/Swahili Nation.

Eno yakwatiddwa aba Pest of Gratemake Films, nga Lillian Maxmillan Nabaggala yeyawandiika olugero awamu netegekbwa Hannah Mugenyi songa Abbas Kaijuka yeyambaza abazannyi

Mu Infinity era mugenda kujiramu obutonde ne kiragala, eyakwatiddwa okuva mu bibira bye Nkokonjeru mu kyaggwe, disitulikiti ye Mukono-Uganda.

https://youtu.be/CaD4c6KG9s8