Amawulire

Young Mulo tafanga gyali

Young Mulo tafanga gyali

Ivan Ssenabulya

July 19th, 2019

No comments

Bya Sadat Mbogo

Poliisi ekkakkanya obujagalalo mu district y’e Mpigi erwanaganye n’abatuuze mu kabuga k’e Kayabwe, nga kidiridde poliisi okukwata ab’oluganda lw’omu ku balabikira mu katambi Young Mulo, nga batta owa bodaboda mu bitundu by’e Rubaga.

Mu kanyolagano kano abantu 5 bebakwatiidwa nga kuliiko mwanyinna wa Young Mulo, ng’ono kitegzeddwa nti tafanga era yalabiddwako mu bitundu bye Kyabwe.

Kigambibwa Young Mulo abadde ajjanjabibwa mwanyina mu kyalo Nabusanke mu gombolola y’e Nkozi era waliwo owa boda boda ategerekeseeko erya Kawooya eyalabiddwa ngamuvuga okumutwala mu ddwaliro okujjanjabibwa.

Kino kyekijje abatuuze wamu naba okuva mu mbeera nebasalako akazigo mwabadde asuubirwa kyokka basanze abuziddwawo kwekukwata ab’oluganda lwe.

Atwala poliisi ye Kayabwe Achilles Atwebembere akaksizza okukwatibwa kwabantu bano, nga baakuyambako mu kunonyereza.