Amawulire

Wuuno taata sseduvutu

Ali Mivule

May 22nd, 2017

No comments

 

Bya Malik Fahad

Poliisi ye  Matete mu disitulikiti ye  Sembabule eriko omusajja ow’emyaka gw’ekutte   40 lwakusobya ku kawalake ak’emyaka 13.

Edward Muyanja  omutuuze ku kyalo  Kaselutwe  y’akwatiddwa ku bigambibwa nti yefudde namunswa kawalake n’akatuuza ku ssesiriiza.

Baliraanwa  bategezezza nti Muyanja ono baamuguddeko lubona nga yekakatise ku kawala kano akaabadde kalaajana nebamukuba mizibu nga era poliisi yebamutaasizzako.

Lameck Kigozi nga yemwogezi  wa poliisi mu maserengeta ga Uganda  akakasizza okukwatibwa kwa Muyanja nga era wakutwalibwa mu kkooti nga okunonyereza kuwedde.

Wabula bakusooka kumutwala mu ddwaliro akeberebwe oba teyasiize mwana ono siriimu.