Amawulire

Wafula Oguttu alonze b’anakola nabo emirimu

Ali Mivule

February 12th, 2014

No comments

Wafula

Akulira oludda oluvuganya gavumenti, Wafula Oguttu alonze akakiiko k’agenda okukola nako emirimu.

Mu balondeddwa Betty Nambooze ye Minista wa kampala, Muwanga Kivumbi agenda kukola ku Nsonga za Munda mu ggwanga,
Medard Ssegona ye minista w’ensonga z’amateeka, Abdu Katuntu ye ssabawolereza wa gavumenti, Dr Lulume Mayiga ye minista w’ebyobulamu, alice Alaso y’akulira akakiiko akabalirira ensimbi z’omuwi w’omusolo ng’amyuukibwa Paul mwiru.

Kassiano Wadri abadde akulira akakiiko kano kati y’akola ku bisuubiz bya gavumenti.

Winnie Kiiza ye minista akola ku nsonga za gavumenti ez’ebitundu n’amyukibwa Maxwell Akora.

Omwogezi wa gavumenti ye Nabirah Naggayi ate ng’akola ku byenjigiriza ye Jacinto Ogwal.

Jack Wammai Wammanga alondeddwa nga minista w’ensonga z’ebweru w’eggwanga

Ssemuju Nganda y’akulira akakiiko akakola ku bitongole bya gavumenti n’amyukibwa Florence Namayanja

Wabula omubaka Odonga Otto yekalakaasa ng’awakanya abalondeddwa

Agamba nti abadde asaana kifo kya kakiiko akabalirira ensimbi za gavumenti nga bw’aba tafunye ekyo tayagala