Amawulire

Vanilla wakukungulwa nga 7 omwezi ogw’omusanvu

Vanilla wakukungulwa nga 7 omwezi ogw’omusanvu

Ivan Ssenabulya

May 25th, 2022

No comments

Bya Jumbe Benjamin,

Minisita omubeezi avunanyizibwa ku byobulimi Fred Bwino, alangiridde ennaku zomwezi 7th July 2022 ngólunaku olwokukungulirako ekirime kya Vanilla okwetoloola eggwanga wabula abalimi balabuddwa obutagezako kukungula atakuzze bulungi.

mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala, minisita agambye nti omutindo gwa vanilla wa uganda gweyongedde okukka olwenkwata naddala mu kukungula, enyanika, nentereka.

kino kiviriddeko uganda obutafuna ensimbi zinyi mu vanilla atwalibwa ebweru weggwanga.

Minisita asabye abalimi okufuba okulaba nti bakungula vanilla ayengedde obulungi.