Amawulire

UPDF ekutte 2 lwa kufera abagala okuyingira LDU

UPDF ekutte 2 lwa kufera abagala okuyingira LDU

Ivan Ssenabulya

July 21st, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Eggye lya UPDF nga liri wamu ne Poliisi baliko abantu babiri bebatadeko obunyogoga ku bigambibwa nti bano nga bayita mu lukujukuju banyazeeko abantu ensimbi ezitanamanyika muwendo nga babalimbye nti bakubawandiisa bayinyigire eggye ekuuma byalo erya LDU.

Amyuka omwogezi weggye lya UPDF, Deo Akiiki atubuulidde nti Marina Ether ow’e myaka 33 nga mutuuze w’e Bombo mu kiseera kino akuumibwa ku poliisi y’e Maganjo oluvanyuma lwokubba ensimbi ku bantu 220 okuva mu disitulikiti y’e Namisindwa ne Manafwa ng’abasuubiziza okubayingiza mu LDU

Omukwate ow’okubiri ye Abdul Chelengat nga aweza egy’obukulu 40 ono yakwatibwa Wankulukuku mu division y’e Rubaga oluvanyuma lwokugyako abantu 250 ensimbi era naye nga abasuubiziza okubayingiza mu ggye ekuuma byalo.

Ono yafera b’e Kapchorwa ne Bukwo

Akiiki agamba nti okunonyereza kukyagenda mu maaso n’oluvanyuma batwalibwe mu kkooti bavunanibwe nga amateeka bwegalagira