Amawulire

UPDF bakaksizza okukwatibwa kwa Dr Lawrence Muganga

UPDF bakaksizza okukwatibwa kwa Dr Lawrence Muganga

Ivan Ssenabulya

September 3rd, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Amagye gegwanga aga UPDF, bakakasizza ngabebyokwerinda bwebakutte, amyuka ssenekulu wettendekero lya Victory University Dr. Lawrence Muganga.

Amawulire gasoose kuyitingana nti Dr Muganga, yawambiddwa abanatu abakyamu, abatanaba kutegerekeka.

Wabula omwogezi wamagye gegwanga Brig Gen Flavia Byekwaso agambye nti Dr Muganga yakwatiddwa ku misango egyekuusa ku bukessi nokubeera mu Uganda, mu bumenyi bwamateeka.

Byekwaso agambye nti bamulina, naye okunonyreza kuyagenda mu maaso,

Tekinategerekeka ddala kiki, kyabaddenga aketta wabulanga ono era ye ssentebbe wabaNyarwanda, abeyita aba-Bavandimwe mu Uganda.