Amawulire

UPDF bakakasizza okukwatibwa kw’omubaka Ssewanyana

UPDF bakakasizza okukwatibwa kw’omubaka Ssewanyana

Ivan Ssenabulya

September 24th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Amagye gegwanga aga UPDF basambazze amawulire agabadde gayitingana, nti omubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana yawambiddwa.

Ssewanya yazeemu nakawatibwa akawungeeze keggulo, wabweru wekkomera lye Kigo bweyabadde yakayimbulwa.

Ssewanyana ne munne omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegirinya bagulwako emisango gyobutemu nobutujju, nga kigambibwa nti buterevu betaba mu butemu bwebijambiya e Masaka.

Kati omwogezi wamagye ge gwanga Brig Gen Flavia Byekwaso agambye nti yakwatiddwa abakuuma ddembe, okubaako byayanukula ku misango emirala egimwolekedde.

Byekwaso agambye nti omubaka Ssewanyana agaliddwa e Kireka.

Aberabiddeko bagamba nti omubaka Ssewanyana yakwatiddwa bubi, abasajja ababadde bebagalidde ebissi bamusindikirizza munda mu mmotoka kika kya Drone nebamubuzaawo.