Amawulire

UPDF bafubutudde abayekera ba ADF ku nsalo

UPDF bafubutudde abayekera ba ADF ku nsalo

Ivan Ssenabulya

February 3rd, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Amagye ge gwanga aga UPDF nagegwanbalemesezza obulumbaganyi bwabayekera era abajambula aba ADF ku nsalo mu Kabuga ke Kamango.

Bwabadde yogerako naffe, akolanga omwogezi wa UPDF Lt Col Ronald Kakurungu akakasizza nti basobodde okufubutula abayekera okubazaayo nkisubi ku liiso.

Akabuga ke Kamango keesudde KM nga 11 okuva ku nsalo ya Uganda.

Agambye nti baatemezeddwako nti babadde bagala kulumba ddwaliro okunyaga eddagala namaduuka mu katundu kano.

Mu bulumbganayi buno Kakurungu agambye nti waliwo abajaasi baabwe abalumiziddwa.

Sound: Kakurungu rebel attack lug

Abantu 60 bebatiddwa mu nkambi eyababundabunda akawungeezi akayise, ngobulumbganyi buno bwakoleddwa akabinja kabalwanyi aka Codeco mu Bugwanjuba bwa Democratic Republic ya Congo.

Eno amayumba bagatekedde omuliro.