Amawulire
UNRA etandise okudabiriza mu Lwera
Bya Ritah Kemigisa
Ekitongole kyebyenguudo mu gwanga, Uganda national roads authority bawabudde abantu bakoseza oluguudo oluva e Kampala okudda e Masaka, okukozesa enguudo endala ezisoboka, okuyita e Mpigi-Kanoni-Sembabule okutuuka e Villa Maria/Masaka.
Mu kiwandiiko kyebafulumizza, bagambye nti bakyetaaga akadde okutereza n’okudabiriza ekitundu ku luguudo liuno mu Lwera, ekyayononese awaserera.
Ekitundu ku luguudo luno e Kamuwunga, kibadde kyaguddemu.
Eno abatambuze naddala abadde badda mu byalo ku nnaku enkulu, babadde bakonkomalidde mu kitundu ekyo, olwakalaipagano kebidduka.