Amawulire

Univasite ziggulawo olwaleero

Univasite ziggulawo olwaleero

Ivan Ssenabulya

November 1st, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

University namatendekero amalala aga waggulu, bigenda kuggulawo olwaleero nga 1 Novemba.

Kibadde kitutte emyezi 4 nga bino biri ku muggalo, ogwalangirirrwa gavumenti mu muyaga ogwokubiri ogwekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Akakiiko akatwala ebyenjigiriza ebya waggulu aka National Council for Higher Education (NCHE) baafulumya ebitekeddwa okugobererwa eri amatendekero gano nga gazeemu okusomesa.

Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni yalagira bano baggulewo olwaleero nga 1 Novemba, ateng abasigadde basubirwa okuggulawo mu January 2022.

Kati abasing, abagenda okweyanjula obutereevu ku matendekero beebo abasoma sciences nabasoma ebyobuliwo oba practicls, atenga absigadde baakusigala ga basomera ku mitimbagano.

Amyuka ssnekulu owettendekero lya Mbarara University of Science and Technology, Prof Celestino Obua agambye nti abayizi okuva mu faculty of applied science, Computing and sciences bebasubirwa olwaleero.

Aba Business management nabasigadde bagenda kusigala nga basoma basinziira waka.

Mu mbeera yeemu nabe Makerere ne Kyambogo bwebatyo bwebakoze.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *