Amawulire

Uganda yekulembedde mu Kulwanyisa Ttaaba mu Africa

Uganda yekulembedde mu Kulwanyisa Ttaaba mu Africa

Ivan Ssenabulya

November 25th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Uganda yekulembedde olukalala lwamawanga mu Africa agalumye nogwengulu, okulwanyisa taaba, ngedirirwa Kenya, Ethiopia namawanga amalala.

Okusinziira ku alipoota ya Global Tobacco Industry Interference Index 2020, eyafulumye oluvanyuma lwokunonyedeza okwakolebwa aba Global Center for Good Governance in Tobacco Control (GGTC), Uganda ekwata ekifo kyakusattu munsi yonna, ngekulemberwa egwanga lya France.

Kenya eri mu kifo kya 9 munsi yonna atenga Ethiopia eri mu kifo kya 10 awamu ku mawanga 34 agatunuliiddwa mu kunonyereza kuno.

Ensonga ezatunuliiddwa yengeri zzi gavumenti gyezikuttemu enkozesa ya taaba, okusobola okukuumaobulamu bwabantu.

Paul Ebusu, nga ye ssnekulu wekibiina Uganda Cancer Society atubulidde nti wewawo gyli gutyo amanaayi gakyetagisa kubanga wabaddewo okweyongera mu miwendo gyabavubuka naddala abawala abakozesa taaba ne ssigala, era kyongedde ku muwendo gwabalwadde bwa kokolo ku Uganda Cancer Institute e Mulago.