Amawulire

Uganda ne Tanzania batadde emikono ku ndagaano z’omudumu gwamafuta

Uganda ne Tanzania batadde emikono ku ndagaano z’omudumu gwamafuta

Ivan Ssenabulya

April 11th, 2021

No comments

Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni ne munne owa Tanzania Samia Suluhu Hassan wamu nabalala abkwtaibwako ensonga, okubadde Total E&P ne CNOOC baliko endagaano za mirundi 3 zebataddeko emikono, kulwa polojekiti yokuzimba omudumu gwamafuta, eya East African Crude Oil Project.

Omukolo guno ogwebyafaayo, guvuddeko okukaanya, ku polojekiti eno egenda okuwemmenta obuwumbi bwa $ 3 nekitundu nga basinzidde mu maka gobwa pulezidenti, Entebbe.

Endagaano z’ebatuseeko era nebasaako emikono, kuliko Host government agreement ngetereddwako omukono naba Total nezi gavumenti eya Uganda ne Tanzania, Shareholders agreement, Tariff and cost government agreement, nendadaago eya transportation agreement.

Kati Museveni agambye nti buno buwanguzi obutukiddwako, ngenkulakulana yamaanyi egenda okutukibwako mu East Africa.

Okusinziira ku minisita owensonga zebweru we gwanga, Sam Kutesa, era batuuse ku kukaanya, ku nsonga n’obumulumulu obubaddewo obubadde, bukyalemesezza polojekiti eno okutandika.

Kati kampuni ziwereddwa ebbeetu, zitandika okugaba endagaano zemirimu era gitandike.

Omuddumu guno gwakuberako obuwanvu KM 1,440 okuva mu disitulikiti ye Hoima, mu Bugwanjuba bwa Uganda okwolekera mu gwanga lya Tanzania, ku Ssemayanja Indian ku mwalo gwe Tanga.